Micah 7

1Ddala zinsanze nze.
Ndi ng’omuntu akungula ebibala
okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu;
tewali kirimba kya mizabbibu kulyako,
wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
2 aAbantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi;
tewali n’omu mulongoofu asigaddewo.
Bonna banoonya okuyiwa omusaayi,
buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
3 bEmikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi;
omufuzi asaba ebirabo,
n’omulamuzi alya enguzi,
n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala
nga basala enkwe.
4 cMu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo;
asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi.
Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse,
era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
5 dTewesiga muntu n’omu,
wadde mukwano gwo,
newaakubadde mukazi wo,
Weegendereze by’oyogera.
6 eKubanga omulenzi agaya kitaawe,
n’omwana alwanyisa nnyina,
muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we.
Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.

7 fNaye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi,
nnindirira Katonda Omulokozi wange;
Katonda wange anampulira.

8 gTonjeeyereza ggwe omulabe wange,
kubanga wadde ngudde, nnaayimuka.
Ne bwe naatuula mu kizikiza,
Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
9 hNnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza,
kubanga nnyonoonye mu maaso ge,
okutuusa lw’alimpolereza,
n’anziza buggya.
Alindeeta mu kitangaala,
era ndiraba obutuukirivu bwe.
10 iOlwo omulabe wange alikiraba,
n’aswala,
oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti,
“Ali ludda wa Mukama Katonda wo?”
Ndisanyuka ng’agudde,
era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.

11 jOlunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka,
olunaku olw’okugaziya ensalo yo.
12 kMu biro ebyo abantu balijja gy’oli
nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri,
n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati,
n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,
n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
13 lEnsi erifuuka matongo,
olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.

Okusaba N’okutendereza

14 mLunda abantu bo n’omuggo gwo,
ekisibo kye weeroboza,
ababeera bokka mu kibira
mu malundiro amagimu.
Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.

15 nNga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri,
nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.

16 oAmawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi,
ne gamalibwamu amaanyi.
Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe
n’amatu gaabwe ne gaziba.
17 pBalirya enfuufu ng’omusota,
ng’ebisolo ebyewalula.
Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana
ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
18 qKatonda ki omulala ali nga ggwe,
asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
naye asanyukira okusaasira.
19 rAlikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe,
n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
20 sOlikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo,
n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu,
nga bwe weeyama eri bajjajjaffe
okuva mu nnaku ez’edda.
Copyright information for LugEEEE